Genesis 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eberi bwe yamala okuzaala Pelegi yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bina mu asatu; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n'awangaala emyaka emirala bina mu asatu (430), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okuzaala Pelegi, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu asatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Peregi emyaka bina mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.