Genesis 11:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pelegi bwe yamala okuzaala Rewu, yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peregi bwe yamala okuzaala Leewo, n'awangaala emyaka emirala bibiri mu mwenda (209), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okuzaala Rewu, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peregi n'awangala bwe yamala okuzaala Leewo emyaka bibiri mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.