Genesis 11:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rewu bwe yamala okuzaala Serugi yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leewo bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala bibiri mu musanvu (207), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rewu bwe yamala okuzaala Serugi n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leewo n'awangaala bwe yamala okuzaala Serugi emyaka bibiri mu musanvu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.