Genesis 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Serugi bwe yamala okuzaala Nakori yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bibiri; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Serugi bwe yamala okuzaala Nakoli n'awangaala emyaka emirala bibiri (200), era mwe yazaalira abaana abalala, ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Serugi bwe yamala okuzaala Nahori, n'awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Serugi n'awangaala bwe yamala okuzaala Nakoli, emyaka bibiri, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.