Genesis 11:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakori bwe yamala okuzaala Tera yawangaalayo emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda; yazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nakoli bwe yamala okuzaala Teera n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda (119), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nahori bwe yamala okuzaala Teera, n'awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakoli n'awangaala bwe yamala okuzaala Teera emyaka kikumi mu kkumi mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.