Genesis 11:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mazadde ga Tera: Tera yazaala Aburaamu, Nakori ne Arani. Ye Arani yazaala Loti;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bazzukulu ba Teera, kitaawe wa Aburaamu ne Nahori ne Harani. Harani yazaala Looti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti.