Genesis 11:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu ne Nakori baawasa abakazi; muka Aburaamu nga ye Sarayi, ate muka Nakori nga ye Miluka, muwala wa Arani. Arani ye yali kitaabwe wa Miluka ne Yisuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'awasa Salaayi, ne Nakoli n'awasa Mirika, muwala wa Kalani, era nga ye kitaawe wa Isika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'awasa Saraayi, ne Nahori n'awasa Milika, muwala wa Harani era kitaawe wa Yisuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Ibulaamu ne Nakoli ne beewasiza abakazi: omukazi wa Ibulaamu erinnya lye Salaayi; n'omukazi wa Nakoli erinnya lye Mirika, omwana wa Kalani, ye kitaawe wa Mirika, era kitaawe wa lsika.