Genesis 11:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagambagana nti: “Abange, mugire tubumbe amataffaali tugookye n'omuliro.” Mu kifo ky'amayinja baddira mataffaali, ate mu kifo ky'obudongo beeyamba bbumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagambagana nti, “Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala.” Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebbumba mu kifo ky'ennoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagambagana nti: “Tubumbe amatoffaali, tugookye nnyo gagume.” Awo ne baba n'amatoffaali, mu kifo ky'amayinja, ne bagasibisa obudongo, mu kifo ky'ennoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'ennoni.