Genesis 11:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tera n'addira Aburaamu mutabani we ne muzukkulu we Loti mutabani wa Arani, ne Sarayi muka mutabani we Aburaamu, ne bava bonna mu Wuru eky'Abakaludeya, bajje mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka e Karani, ne basenga eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teera n'atwala mutabani we Ibulaamu, ne Lutti, muzzukulu we, omwana wa Kalani, ne Salaayi muka mwana we Ibulaamu; ne basenguka okuva mu kibuga Uli, mu ensi ey'Abakaludaaya, ne bagenda mu nsi eya Kanani, ne basenga e Kalani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teera n'atwala mutabani we Aburaamu ne muzzukulu we Looti, mutabani wa Harani, ne mukaamwana we Saraayi, muka Aburaamu, n'ava nabo mu kibuga Wuuri eky'Abakaludaaya, bagende mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka e Harani, ne basenga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teera n'atwala Ibulaamu omwana we, ne Lutti, omwana wa Kalani, omuzzukulu we, ne Salaayi muka mwana we, omukazi w'omwana we Ibulaamu; ne bavaayo nabo mu Uli, ye ensi ey'Abakaludaaya, okuyingira mu nsi ya Kanani; ne batuuka e Kalani, ne batuula eyo.