Genesis 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba nti: “Abange, mujje twezimbire ekibuga n'omunaala entikko yaagwo ng'ekwata ku ggulu, twekolere tutyo erinnya tuleme kusaasaana mu nsi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba nti, “Kale nno, twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka mu ggulu, twekolere erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Twezimbire ekibuga ekirimu omunaala ogutuuka ku ggulu, twekolere erinnya, era tuleme kusaasaanyizibwa ku nsi yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n'ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna.