Genesis 11:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Baabano bakyali ggwanga limu n'olulimi balina lumu; eno ekyali ntandikwa yokka ey'ebyo bye banaakola; oluvannyuma tebajja kuzibuwalirwa kukola kyonna kye baliba baagadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “Laba, abantu bano lye ggwanga limu, bonna balina olulimi lumu; kino kye baagala era kye batandise okukola tekijja kubalema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Laba bano bonna bali bumu, era boogera olulimi lumu. Eno nno ye ntandikwa y'ebyo bye balikola. Tewali kye baagala kukola kiribalema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna baalina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola.