Genesis 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Babeli, kubanga awo Omukama we yatabulatabulira olulimi lw'ensi yonna. Wano Omukama we yabasaasaanyiza ku nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erinnya ly'ekibuga kye lyava liyitibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna; n'okuva awo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekyo ne kiyitibwa Babeeli, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi yonna, era okuva awo, n'asaasaanya abantu ku nsi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna: n'okuva eyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.