Genesis 12:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Aburaamu nti: “Leka ensi yo, eŋŋanda zo n'ab'ennyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Va mu nsi yo ne mu kika kyo, ne mu nnyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Va mu nsi yo, oleke baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, ogende mu nsi gye ndikulaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: