Genesis 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, enjala n'egwa mu nsi. Aburaamu n'aserengeta mu Misiri, abeere eyo, kubanga enjala yali eyinze mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enjala n'egwa mu nsi ya Kanani; Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo kubanga enjala yali nnyingi mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wagwa enjala mu nsi eyo, Aburaamu n'aserengeta mu Misiri, agira abeera eyo, kubanga enjala yali nnyingi mu Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi.