Genesis 12:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, nkwegayiridde, ogamba nti oli mwannyinaze. Nze biŋŋendere bulungi olw'okubeera ggwe, obulamu bwange buwone olw'okubeera ggwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde, ogambanga nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, n'obulamu bwange buwone ku lulwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde gamba nti oli mwannyinaze, balyoke bampise bulungi, era obulamu bwange buwone ku lulwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyogeranga, nkwegayiridde, nga gw'oli mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n'obulamu bwange buwone ku lulwo.