Genesis 12:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'ayisibwa bulungi olw'okubeera ye; n'afuna endiga, ente, abaddu n'abazaana, endogoyi ensajja n'enkazi, n'eŋŋamiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ayisa bulungi Ibulaamu ku lwa Salaayi, n'amuwa endiga, ente, endogoyi ensajja n'enkazi, eŋŋamira, abaddu n'abazaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwa Saraayi oyo, kabaka n'ayisa bulungi Aburaamu n'amuwa ente n'endiga, n'embuzi, n'endogoyi, abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola bulungi Ibulaamu ku bubwe: n'aba n'endiga, n'ente, n'endogoyi ensajja, n'abaddu, n'abazaana, n'endogoyi enkazi, n'eŋŋamira.