Genesis 12:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'ayita Aburaamu n'amugamba nti: “Kiki kino ky'onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti, “Kino kiki ky'onkoze? Kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'atumya Aburaamu, n'amugamba nti: “Kiki kino ky'onkoze? Lwaki tewambuulira nti mukazi wo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo?