Genesis 12:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki waŋŋamba nti: ‘Ono mwannyinaze?’ Nze namutwala ne mmufuula mukazi wange. Kale nno, mukazi wo wuuyo: mutwale, ogende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki ekyakwogeza nti, ‘Ye mwannyinaze,’ nange ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale ogende.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki wagamba nti mwannyoko, nze ne mmufuula mukazi wange? Kale mukazi wo wuuyo, mutwale, ogende.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze, nange n'okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo, omutwale, weegendere.