Genesis 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikukolamu eggwanga eddene era ndikuwa omukisa, ndyatiikiriza erinnya lyo, naawe olibeeranga mukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nange ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu, olyoke obeere mukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuwa abazzukulu bangi, abaliba eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, era ndikuza erinnya lyo, obeerenga wa mukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: