Genesis 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abakuwa omukisa ndibawa omukisa, abakuvumirira ndibavumirira; ate mu ggwe amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era buli alikukolimira nange namukolimiranga; era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era ndikolimira oyo alikukolimira. Era mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.