Genesis 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Aburaamu n'avaayo ng'Omukama bwe yali amulagidde, ne Loti n'agenda naye. Aburaamu yali wa myaka nsanvu mu etaano we yaviira mu Karani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye; Ibulaamu yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano (75) bwe yava mu Kalani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburaamu bwe yali awezezza emyaka nsanvu mu etaano egy'obukulu, n'ava mu Harani, nga Mukama bwe yamugamba. Ne Looti n'agenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani.