Genesis 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atwala mukazi we Sarayi ne Loti mutabani wa muganda we n'ebintu byabwe byonna bye baali bafunye e Karani, ne basitula bagende mu nsi y'e Kanaani, ne batuuka mu nsi y'e Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza, n'abaddu be baafunira mu Kalani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'atwala mukazi we Saraayi, ne Looti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baalina, n'abantu bonna be baafunira mu Harani, ne batambula okutuuka mu nsi y'e Kanaani. Bwe baatuuka mu Kanaani,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza; n'abantu be baafunira mu Kalaani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani.