Genesis 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'ayita mu nsi okutuuka mu kifo ky'e Sekemu, ku muvule omunene ogw'e More. Olwo Abakanaani be baalinga mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'ayita mu nsi eyo n'atuuka e Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanani yali akyali mu nsi mu biro ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'ayita mu nsi eyo, n'atuuka mu kifo ky'e Sekemu, awali omuvule gwa More. Mu biseera ebyo, Abakanaani baali bakyali mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'ayita mu nsi n'atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanaani yali mu nsi mu biro ebyo.