Genesis 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'alabikira Aburaamu n'amugamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” N'azimbira eyo Omukama eyamulabikira omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti, “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” N'azimbira Mukama eyamulabikira ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'alabikira Aburaamu n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.” Aburaamu n'azimbira eyo alutaari Mukama eyamulabikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama eyamulabikira.