Genesis 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'ayambuka okuva mu Misiri, ye yennyini ne mukazi we na byonna bye yalina, nga ne Loti ali naye, n'alaga e Negevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'ayambuka ne mukazi we, ne Lutti, n'ebyabwe byonna okuva mu Misiri; ne bagenda mu bukiikaddyo obwa Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'ayambuka, n'ava mu Misiri, ng'ali ne mukazi we, ne byonna bye yalina, n'alaga mu bukiikaddyo obwa Kanaani. Ne Looti n'agenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'alinnya n'ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo.