Genesis 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Loti bwe yayimusa amaaso n'alaba omuseetwe gwonna ogwa Yorudani, gwonna nga gufukiriddwa, nga guli ng'ennimiro y'Omukama, nga bw'olaba Misiri ng'ogenda e Zowari. Olwo Omukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomorra.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, okutuukira ddala e Zowaali, nga lulimu amazzi mangi, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Looti ne yeebunguluza amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yorudaani lwonna, okutuukira ddala e Zowari, nga lulimu amazzi mangi, nga luli ng'ennimiro ya Mukama oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodoma ne Ggomola, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, ng'ensi y'e Misiri, ng'ogenda mu Zowaali.