Genesis 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'abeera mu nsi Kanaani; ye Loti n'asenga mu bibuga by'omu museetwe gwa Yorudani, n'asimba weema kumpi ne Sodoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'abeera mu nsi y'e Kanaani. Looti n'abeera mu bibuga eby'omu lusenyi, n'asimba eweema ye okumpi ne Sodoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma.