Genesis 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Loti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Omukama n'agamba Aburaamu nti: “Yimusa amaaso go, sinziira wano w'oli, laba okuva wano w'oli otunule emambuka n'emaserengeta, ebuvanjuba n'ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti, “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiikakkono n'obwaddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Looti bwe yamala okwawukana ne Aburaamu, Mukama n'agamba Aburaamu nti: “Weebunguluze amaaso go, otunule ku buli ludda ng'osinziira mu kifo mw'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba: