Genesis 13:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde lyo nzija kulyenkanya enfuufu y'ettaka: oba waliwo asobola okubala enfuufu y'ettaka, oyo y'alibala n'ezzadde lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi; era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, oyo mpozzi y'aliyinza okubabala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuwa abazzukulu bangi ng'enfuufu eri ku nsi, era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, ne bazzukulu bo bwe baliyinza okubalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi: era omuntu bw'ayinza okubala enfuufu ey'oku nsi, era n'ezzadde lyo liribalika.