Genesis 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu oluyombo lwabalukawo wakati w'abalunzi b'amagana ga Aburaamu n'abalunzi b'amagana ga Loti. Mu budde obwo Abakanaani n'Abaperizzi nga be babeera mu kitundu ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wabalukawo enkaayana wakati w'abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti. Era Omukanani n'Omuperizi baali ba kyatuula mu nsi eyo mu nnaku ezo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wasitukawo enkaayana wakati w'abasumba ba Aburaamu n'abasumba ba Looti. Era mu kiseera ekyo Abakanaani n'Abaperizi baali bakyali mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wabaawo empaka eri abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti: era Omukanani n'Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo.