Genesis 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu kwe kugamba Loti nti: “Wattu nze naawe tuleme kuyomba, wadde abalunzi bange okuyomba n'abalunzi bo; anti tuli ba luganda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'agamba Lutti nti, “Nkwegayiridde waleme okubaawo okukaayana wakati wange naawe ne wakati w'abasumba bange n'ababo; kubanga tuli ba luganda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburaamu n'agamba Looti nti: “Waleme kubaawo nkaayana wakati wo nange, wadde wakati w'abasumba bo n'abange, kubanga tuli baaluganda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n'eri abasumba bange n'abasumba bo; kubanga tuli ba luganda.