Genesis 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yonna tekuli awo mu maaso go? Twawukane: bw'onoolaga ku kkono, nze nnaakwata ddyo; ggwe bw'onoolondawo ogwa ddyo, nze nnaalaga ku gwa kkono.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi yonna teri mu maaso go? Kale nkwegayiridde twawukane. Bw'oneeroboza omukono ogwa kkono, nze n'agenda ku gwa ddyo. Bw'oneeroboza ogwa ddyo, nze n'agenda ku gwa kkono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi yonna yiiyo! Twawukane. Bw'oneeroboza oludda olwa kkono, nze nadda ku lwa ddyo. Bw'oneeroboza oludda olwa ddyo, nze nadda ku lwa kkono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw'oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange naagenda ku mukono ogwa kkono.