Genesis 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiwonvu Siddimu kyalimu ebirombe bingi eby'ebbumba. Kabaka w'e Sodoma ne Gomorra ne badduka, ne bagwa omwo; abaali basigaddewo ne baddukira ku lusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obwe ttosi; kabaka ow'e Sodoma n'ow'e Ggomola, bwe badduka ne babugwamu, abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiwonvu ky'e Siddimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi. Awo bakabaka b'e Sodoma ne Gomora bwe badduka, ne bagwa omwo. Abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi; ne bakabaka w’e Sodoma ne Ggomola ne badduka, ne bagwa omwo, n'abo abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.