Genesis 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawanguzi ne batwala byonna eby'e Sodoma ne Gomorra n'emmere yaabwe yonna, ne bagenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mulimu n'eby'okulya byonna, ne bagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mw'otwalidde n'ebyokulya byonna, ne bagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne banyaga abintu byonna eby'omu Sodoma ne Ggomola, n'ebyokulya byabwe byonna, ne beegendera.