Genesis 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaawonawo omu n'ajja, n'abuulira Aburaamu Omwebureeyi eyali abeera ku muvule omunene ogwa Mamure Omwamori, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; kubanga bano baali ba mukago ne Aburaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omu eyawonawo n'ajja n'abuulira Ibulaamu, omwebbulaniya; oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli era muganda wa Aneri; abo bombi baali baalagaana ne Ibulaamu okulwaniranga awamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuntu omu eyawonawo, n'ajja n'abuulira Aburaamu Omwebureeyi, eyabeeranga okumpi n'emivule gya Mamure Omwamori, muganda wa Esukooli ne Aneri, abaali bakolagana obulungi ne Aburaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wajja omu eyawonawo, n'abuulira Ibulaamu Omwebbulaniya: oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; nabo baali nga balagaanye ne Ibulaamu.