Genesis 14:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu bwe yakomawo ng'amaze okuwangula Kedorulawomeri ne bakabaka abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu kiwonvu ky'e Save, ekitegeeza Ekiwonvu kya Kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save, era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save (era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabaka w'e Sodoma n'afuluma okumusisinkana, bwe yamala okukomawo ng'asse Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, mu kiwonvu Save (kye kiwonvu kya kabaka).