Genesis 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Melekisedeki kabaka w'e Saalemu n'aggyayo omugaati n'evviini; yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo; n'aleeta emmere n'omwenge,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Melikizeddeki, kabaka w'e Saalemu, era kabona wa Katonda Atenkanika, n'aleeta omugaati n'omwenge ogw'emizabbibu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Merukizeddeeki kabaka w'e Ssaalemi n'aleta emmere n'omwenge: era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo.