Genesis 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amuwa omukisa n'agamba nti: “Aburaamu aweebwe omukisa Katonda Ali Waggulu Ddala Omutonzi w'eggulu n'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti, “Katonda Ali Waggulu Ennyo Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'asabira Ibulaamu omukisa, n'ayogera nti, “Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi, awe Ibulaamu omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'asabira Aburaamu omukisa ng'agamba nti: “Katonda Atenkanika eyakola eggulu n'ensi, awe Aburaamu omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amusabira omukisa, n'ayogera nti Ibulaamu aweebwe omukisa, Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi: