Genesis 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
baggulawo olutalo ku Bera kabaka w'e Sodoma, Birusa kabaka we Gomorra, Sinabu kabaka w'e Aduma, Semeberi kabaka we Zeboyimu, ssaako kabaka w'e Bela, kwe kugamba Zowari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bakabaka abo ne balwanagana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera, oba Zowaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bakabaka abo ne balwanagana ne Bera, kabaka wa Sodoma, ne Birusa, kabaka w'e Gomora, ne Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semeberi, kabaka w'e Zeboyiimu, era ne kabaka w'e Bela, oba Zowari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balwana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali).