Genesis 14:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Katonda Ali Waggulu Ddala atenderezebwe eyawaddeyo mu mikono gyo abalabe bo.” Aburaamu n'amuwa ekyekkumi ku byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe agabudde abalabe bo mu mikono gyo.” Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Katonda oyo ali waggulu ennyo akusobozesezza okuwangula abalabe bo, atenderezebwe.” Ibulaamu n'awa Merukizeddeeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Katonda Atenkanika, eyakusobozesa okuwangula abalabe bo, atenderezebwe!” Aburaamu n'awa Melikizeddeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Katonda ali waggulu ennyo atenderezebwe akugabidde abalabe bo mu mukono gwo. N'amuwa ekitundu eky'ekkumi ekya byonna.