Genesis 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Aburaamu n'ayanukula kabaka w'e Sodoma nti: “Ngoloredde omukono gwange eri Omukama Katonda Ali Waggulu Ddala, Omutonzi w'eggulu n'ensi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti, “Ngolola omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'addamu kabaka w'e Sodoma nti: “Ngolola omukono gwange eri Katonda Atenkanika eyakola eggulu n'ensi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti Nnyimusizza omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi,