Genesis 14:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
siitwale kantu ku bibyo, wadde wuzi eti oba olukoba lw'engatto, oleme kugamba nti: ‘Nze nagaggawaza Aburaamu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga ndayira nti, Sijja kutwala kintu kyo nakimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto, oleme kwogera nti, ‘Nze ngaggawazizza Ibulaamu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne ndayira nti: ‘Sijja kutwala kintu kyo na kimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto,’ oleme okugamba nti: ‘Nze nagaggawaza Aburaamu!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga ndayira nti siritwala kaggwa newakubadde akakoba k'engatto newakubadde akantu konna k'olina, oleme okwogera nti Mmugaggawazizza Ibulaamu: