Genesis 14:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abo abasembyeyo beekuŋŋaanya mu kiwonvu Siddimu, kati awali Ennyanja y'Omunnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabaka abo abataano begattira mu kiwonvu Sidimu, eyo ye nnyanja ey'omunnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu ky'e Siddimu, kati ye Nnyanja y'Omunnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu Sidimu (eyo ye nnyanja ey'omunnyo):