Genesis 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakomawo ne bajja e Eni-Misupati, kwe kugamba e Kadesi. Ne bawangula ekitundu kyonna eky'Abaamaleki, gattako Abaamori, ab'omu Kazazoni-Tamari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo ne bakyuka, ne balaga e Nuumisupaati, kati ye Kadesi, ne bawangula ensi yonna ey'Abamereki, n'ey'Abamoli, ababeera mu Kazazonutamali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ne bakyuka, ne balaga e Enumisapaati (kati ye Kadesi), ne bawangula ensi yonna ey'Abamaleki n'ey'Abaamori, ababeera mu Hazazonutamari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddayo ne batuuka e Nuumisupaati (ye Kadesi), ne bakuba ensi yonna eya Abameleki, era n'eya Abamoli, abaatuula mu Kazazonutamali.