Genesis 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Sodoma ne kabaka w'e Gomorra, ne kabaka we Aduma, ne kabaka w'e Zeboyimu, ssaako ne kabaka w'e Bela, ye Zowari, ne bavaayo, ne bataza eggye mu kiwonvu Siddimu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabaka: ow'e Sodoma, n'ow'e Ggomola, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiyimu, n'ow'e Bera, oba Zowaali; ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Sidimu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabaka ow'e Sodoma n'ow'e Gomora, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiimu, n'ow'e Bela oba Zowari, ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Siddimu, okulwanyisa
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne watabaala kabaka w'e Sodoma, ne kabaka w'e Ggomola, ne kabaka w'e Aduma, ne kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali); ne bategeka olutalo okulwanira nabo mu kiwonvu Sidimu;