Genesis 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okulwanyisa Kedorulawomeri kabaka wa Elamu ne Tidali kabaka wa Goyimu ne Amurafeli kabaka w'e Sinari ne Ariyoki kabaka wa Ellasari; bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okulwanyisa bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Eramu, Tidali, ow'e Goyiyimu, Amulafeeri, ow'e Sinali, ne Aliyooki ow'e Erasali; bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Elamu, Tidali ow'e Goyiimu, Amurafeeli ow'e Sinaari, ne Ariyooki ow'e Elisaari, bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okulwana ne Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, ne Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, ne Amulafeeri, kabaka w'e Sinali, ne Aliyooki kabaka w'e Erasali: bakabaka abana nga balwana n'abataano.