Genesis 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Omukama n'alabikira Aburaamu n'amugamba nti: “Aburaamu, leka kutya. Nze ngabo yo, n'empeera yo eriba nnene nnyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti, “Totya, Ibulaamu; nze ngabo yo, era ndikuwa empeera ennene ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Aburaamu n'alabikirwa, n'awulira Mukama ng'amugamba nti: “Aburaamu totya, ndikuwonya akabi, era ndikuwa empeera ennene ennyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti Totya, Ibulaamu: nze ngabo yo, n'empeera yo ennene ennyo.