Genesis 15:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo byonna n'abimuleetera, n'abisalamu wabiri wabiri, n'abissaawo nga buli kiwayi kitunuulidde kinne waakyo; byo ebinyonyi teyabibajjulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna n'abireeta, buli nsolo n'agitemamu wakati ebitundu bibiri, n'abitegeka nga bitunuuliganye; naye ennyonyi zo n'atazitemamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'amuleetera ebyo byonna. Ensolo n'azitemamu wakati, ebitundu n'abiteeka bibiri bibiri, nga bitunuuliganye. Naye ennyonyi n'atazitemamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeetwalira ebyo byonna, n'abyasaamu wakati, n'ateeka ebitundu bibiri bibiri nga birabagana: naye ebinyonyi n'atabyaasaamu.