Genesis 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba bwe yali egwa, Aburaamu otulo otungi ne tumukwata, enzikiza ekutte ey'entiisa n'emujjira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo enjuba bwe yali ng'egwa, Ibulaamu n'akwatibwa otulo otungi, n'entiisa n'emujjira olw'enzikiza eyali ekutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba bwe yali ng'egwa, Aburaamu n'akwatibwa otulo tungi, era n'ajjirwa entiisa olw'enzikiza ekutte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enjuba bwe yali ng'egwa, otulo otungi ne tugwa ku Ibulaamu; era, laba, entiisa ey'ekizikiza ekikutte n'emugwako.