Genesis 15:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo ayogera gy'ali nti: “Tegeerera ddala nti ezzadde lyo liribeera mu nsi eteri yaabwe, balibafuula baddu, balibabonyaabonya okumala emyaka ebikumi bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaalyo, era liribaweereza, era liribonyaabonyezebwa okumala emyaka bina (400).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba nti: “Manyira ddala nga bazzukulu bo baliba bagwira mu nsi eteri yaabwe, era balifugirwayo n'obukambwe okumala emyaka ebikumi bina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Ibulaamu nti Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaabwe, era balibaweereza; era balibabonyezabonyeza emyaka bina;